Ephesians 4:7-10

7 aBuli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli. 8 bEbyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,

“Bwe yalinnya mu ggulu,
n’atwala omunyago,
n’awa abantu ebirabo.”
9Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi. 10Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna.
Copyright information for LugEEEE